Ezekiel 21:28-32

28 a“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:

“ ‘Ekitala, ekitala,
kisowoddwa okutta,
Kiziguddwa okusaanyaawo
era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 bNewaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,
ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,
ekitala kiriteekebwa ku bulago
bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,
olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe
be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.

30 c“ ‘Ekitala kizze
mu kiraato kyakyo.
Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,
eyo gye ndikusalirira omusango.
31 dNdikufukako ekiruyi kyange,
ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,
ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,
abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 eOliba nku za muliro,
n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,
era tolijjukirwa nate,
kubanga nze Mukama njogedde.’ ”
Copyright information for LugEEEE